-
Okuva 20:2-5Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
2 “Nze Yakuwa Katonda wo eyakuggya mu nsi ya Misiri, mu nnyumba ey’obuddu.+ 3 Tobanga na bakatonda balala okuggyako nze.+
4 “Teweekoleranga kifaananyi ekyole oba ekintu kyonna ekyefaanaanyiriza ekintu ekiri waggulu ku ggulu oba ekiri wansi ku nsi oba ekiri mu mazzi agali ku nsi.+ 5 Tobivunnamiranga era tosendebwasendebwanga kubiweereza,+ kubanga nze Yakuwa Katonda wo, ndi Katonda ayagala abantu okunneemalirako,+ abonereza abaana n’abazzukulu n’abaana b’abazzukulu olw’ensobi za bakitaabwe abankyawa,
-