-
Ezera 3:11Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
11 Ne batandika okuyimba mu mpalo+ nga batendereza Yakuwa era nga bamwebaza, “kubanga mulungi; okwagala okutajjulukuka kw’alaga Isirayiri kwa mirembe na mirembe.”+ Awo abantu bonna ne boogera mu ddoboozi erya waggulu ennyo nga batendereza Yakuwa olw’okuba omusingi gw’ennyumba ya Yakuwa gwali gumaze okuzimbibwa.
-
-
Yeremiya 33:10, 11Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
10 “Bw’ati Yakuwa bw’agamba: ‘Mu kifo kino kye mulyogerako nti kyafuuka matongo, omutali muntu wadde ensolo, mu bibuga bya Yuda ne ku nguudo za Yerusaalemi ebyafuuka amatongo, omutali muntu wadde abakibeeramu wadde ensolo, nate muliwulirwamu 11 amaloboozi ag’okusanyuka n’okujaguza,+ n’amaloboozi g’omugole omusajja n’omugole omukazi, n’amaloboozi g’abantu abagamba nti: “Mwebaze Yakuwa ow’eggye, kubanga Yakuwa mulungi;+ okwagala kwe okutajjulukuka kwa mirembe na mirembe!”’+
“‘Balireeta ebiweebwayo eby’okwebaza mu nnyumba ya Yakuwa,+ kubanga ndikomyawo abaawambibwa mu nsi, nga bwe nnakola mu kusooka,’ Yakuwa bw’agamba.”
-