-
Nekkemiya 9:17Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
17 Baagaana okuwuliriza,+ era tebajjukira bikolwa byo eby’ekitalo bye wabakolera, naye baawaganyala* ne beerondera eyali ajja okubakulemberamu okuddayo mu buddu bwabwe e Misiri.+ Naye oli Katonda omwetegefu okusonyiwa,* ow’ekisa, omusaasizi, alwawo okusunguwala, era alina okwagala kungi okutajjulukuka,+ era tewabaabulira.+
-
-
Yona 4:2Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
2 Awo n’asaba Yakuwa ng’agamba nti: “Ai Yakuwa, ekyo si kye nnayogera nga ndi mu nsi yange? Eyo ye nsonga lwaki nnagezaako okuddukira e Talusiisi+ kubanga nnali nkimanyi nti oli Katonda wa kisa era omusaasizi, alwawo okusunguwala, alina okwagala okungi okutajjulukuka+ era omwetegefu okukyusa ekirowoozo n’otobonereza.
-