-
Yeremiya 33:20, 21Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
20 “Bw’ati Yakuwa bw’agamba, ‘Bwe muba nga musobola okumenya endagaano yange ekwata ku budde obw’emisana n’endagaano yange ekwata ku budde obw’ekiro, emisana n’ekiro bireme okubeerawo mu kiseera kyabyo,+ 21 olwo endagaano gye nnakola n’omuweereza wange Dawudi esobola okumenyebwa,+ n’ataba na mwana afuga nga kabaka ku ntebe ye,+ era n’endagaano gye nnakola n’abaweereza bange bakabona Abaleevi esobola okumenyebwa.+
-