2 Bassekabaka 6:17 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 17 Erisa n’asaba ng’agamba nti: “Ai Yakuwa, zibula amaaso ge alabe.”+ Amangu ago Yakuwa n’azibula amaaso g’omuweereza n’alaba, era laba! ekitundu eky’ensozi kyali kijjudde embalaasi n’amagaali ag’omuliro,+ nga byetoolodde Erisa.+ Zabbuli 34:7 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 7 Malayika wa Yakuwa asiisira okwetooloola abo bonna abatya Katonda,+Era abanunula.+ Matayo 18:10 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 10 Temunyoomanga omu ku bato bano, kubanga mbagamba nti bamalayika baabwe abali mu ggulu bulijjo babeera mu maaso ga Kitange ali mu ggulu.+
17 Erisa n’asaba ng’agamba nti: “Ai Yakuwa, zibula amaaso ge alabe.”+ Amangu ago Yakuwa n’azibula amaaso g’omuweereza n’alaba, era laba! ekitundu eky’ensozi kyali kijjudde embalaasi n’amagaali ag’omuliro,+ nga byetoolodde Erisa.+
10 Temunyoomanga omu ku bato bano, kubanga mbagamba nti bamalayika baabwe abali mu ggulu bulijjo babeera mu maaso ga Kitange ali mu ggulu.+