Zabbuli 19:7 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 7 Etteeka lya Yakuwa lyatuukirira,+ lizzaamu amaanyi.+ Yakuwa by’atujjukiza byesigika,+ bigeziwaza atalina bumanyirivu.+ Zabbuli 40:8 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 8 Ai Katonda wange, nsanyukira* okukola by’oyagala,+Era amateeka go gali munda mu nze.+ Zabbuli 112:1 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 112 Mutendereze Ya!*+ א [Alefu] Alina essanyu omuntu atya Yakuwa,+ב [Besu] Asanyukira ennyo ebiragiro bye.+ Matayo 5:3 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 3 “Balina essanyu abamanyi obwetaavu bwabwe obw’eby’omwoyo,*+ kubanga Obwakabaka obw’omu ggulu bwabwe. Abaruumi 7:22 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 22 Mazima ddala nsanyukira etteeka lya Katonda mu mutima gwange,+ Yakobo 1:25 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 25 Naye oyo eyeetegereza amateeka agaatuukirira+ era ag’eddembe, n’aganyiikiriramu, omuntu oyo taba muwulizi eyeerabira wabula aba muntu agondera ekigambo, era ajja kuba musanyufu mu kukola bw’atyo.+
7 Etteeka lya Yakuwa lyatuukirira,+ lizzaamu amaanyi.+ Yakuwa by’atujjukiza byesigika,+ bigeziwaza atalina bumanyirivu.+
112 Mutendereze Ya!*+ א [Alefu] Alina essanyu omuntu atya Yakuwa,+ב [Besu] Asanyukira ennyo ebiragiro bye.+
3 “Balina essanyu abamanyi obwetaavu bwabwe obw’eby’omwoyo,*+ kubanga Obwakabaka obw’omu ggulu bwabwe.
25 Naye oyo eyeetegereza amateeka agaatuukirira+ era ag’eddembe, n’aganyiikiriramu, omuntu oyo taba muwulizi eyeerabira wabula aba muntu agondera ekigambo, era ajja kuba musanyufu mu kukola bw’atyo.+