-
Okubala 10:10Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
10 “Ne mu biseera byammwe eby’okujaguza,+ ebiseera eby’okukwata embaga zammwe+ ne ku ntandikwa ya buli mwezi, mujja kufuuyiranga amakondeere ku biweebwayo byammwe ebyokebwa+ ne ku ssaddaaka zammwe ez’emirembe;+ ekyo kinaabaviirangako okujjukirwa mu maaso ga Katonda wammwe. Nze Yakuwa Katonda wammwe.”+
-
-
2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 29:27Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
27 Awo Keezeekiya n’alagira baweeyo ku kyoto ekiweebwayo ekyokebwa.+ Bwe baatandika okukiwaayo, oluyimba lwa Yakuwa ne lutandika era n’amakondeere ne gatandika okufuuyibwa nga gagoberera ebivuga bya Dawudi kabaka wa Isirayiri.
-