17 Kubanga Yakuwa Katonda wammwe ye Katonda wa bakatonda bonna+ era ye Mukama wa bakama, ye Katonda ow’ekitalo, ow’amaanyi, era ow’entiisa, atasosola+ era atalya nguzi, 18 akola ku nsonga z’omwana atalina kitaawe* n’eza nnamwandu+ mu bwenkanya, era ayagala omugwira+ n’amuwa emmere n’eky’okwambala.