-
Okuva 7:20, 21Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
20 Amangu ago Musa ne Alooni ne bakola nga Yakuwa bwe yali abalagidde. Alooni n’agalula omuggo n’akuba ku mazzi ag’Omugga Kiyira nga Falaawo n’abaweereza be balaba, amazzi gonna agaali mu mugga ne gafuuka omusaayi.+ 21 Ebyennyanja ebyali mu mugga ne bifa,+ omugga ne gutandika okuwunya ekivundu, era Abamisiri baali tebayinza kunywa ku mazzi ga Kiyira;+ omusaayi gwali mu nsi ya Misiri yonna.
-