-
Okuva 9:23-26Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
23 Musa n’agolola omuggo gwe eri eggulu, Yakuwa n’aleeta ku nsi okubwatuka n’omuzira, era omuliro* ne guva mu ggulu ne gugwa ku nsi, era Yakuwa n’atonnyesa omuzira ku nsi ya Misiri. 24 Waaliwo omuzira, era omuliro gwali gwakira mu muzira. Omuzira gwali gwa maanyi nnyo; gwali tegubangawo mu nsi yonna eya Misiri kasookedde efuuka eggwanga.+ 25 Omuzira gwakuba buli kimu ekyali ku ttale mu nsi yonna eya Misiri; gwakuba abantu n’ensolo, era ne gukuba ebimera byonna, n’emiti gyonna egy’oku ttale.+ 26 Ekitundu ky’e Goseni ekyalimu Abayisirayiri kye kyokka ekitaakubibwa muzira.+
-