28 Bagambe nti, ‘“Nga bwe ndi omulamu,” Yakuwa bw’agamba, “nja kubakolera ddala nga bwe mpulidde mwogera!+ 29 Emirambo gyammwe gijja kugwa mu ddungu lino,+ abo bonna mu mmwe abaawandiikibwa, okuva ku b’emyaka 20 n’okudda waggulu, mmwe mmwenna abanneemulugunyizzaako.+