-
Okubala 25:11-13Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
11 “Fenekaasi+ mutabani wa Eriyazaali mutabani wa Alooni kabona aggye obusungu bwange ku bantu ba Isirayiri olw’okuba tagumiikirizza mu bo butali bwesigwa gye ndi.+ Kyenvudde sisaanyaawo Bayisirayiri, wadde nga njagala okunneemalirako.+ 12 Olw’ensonga eyo mugambe nti, ‘nkola naye endagaano ey’emirembe. 13 Ejja kuba ndagaano ey’obwakabona obw’olubeerera eri ye n’eri ezzadde lye eririmuddirira,+ olw’okuba tagumiikirizza butali bwesigwa eri Katonda we,+ n’atangirira abantu ba Isirayiri.’”
-