-
Ekyamateeka 7:1, 2Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
7 “Yakuwa Katonda wo bw’anaakutuusa mu nsi gy’onootera okuyingiramu era ogitwale,+ ajja kusaanyaawo amawanga amanene agaggye mu maaso go:+ Abakiiti, Abagirugaasi, Abaamoli,+ Abakanani, Abaperizi, Abakiivi, n’Abayebusi;+ amawanga musanvu agakusinga obunene n’amaanyi.+ 2 Yakuwa Katonda wo ajja kugawaayo gy’oli era ojja kugawangula.+ Ogazikirizanga.+ Tokolanga ndagaano nago era togakwatirwanga kisa.+
-