11 Abayisirayiri ne bakola ebintu ebibi mu maaso ga Yakuwa era ne baweereza Babbaali.+ 12 Bwe batyo ne baleka Yakuwa Katonda wa bakitaabwe eyabaggya mu nsi ya Misiri;+ ne bagoberera bakatonda abalala, bakatonda b’amawanga agaali gabeetoolodde,+ ne babavunnamira, ne banyiiza Yakuwa.+