-
Ekyamateeka 12:31Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
31 Yakuwa Katonda wo tomusinzanga nga bo bwe bakola, kubanga bakolera bakatonda baabwe ebintu byonna eby’omuzizo Yakuwa by’atayagala, era bookya batabani baabwe ne bawala baabwe mu muliro nga babawaayo eri bakatonda baabwe.+
-
-
2 Bassekabaka 16:1Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
16 Mu mwaka ogw’ekkumi n’omusanvu ogw’obufuzi bwa Peka mutabani wa Lemaliya, Akazi+ mutabani wa Kabaka Yosamu owa Yuda yafuuka kabaka.
-
-
2 Bassekabaka 17:17, 18Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
17 Ate era baayokyanga* batabani baabwe ne bawala baabwe mu muliro,+ baakolanga eby’obulaguzi+ era baanoonyanga obubonero okulagulwa, era baakolanga* ebibi mu maaso ga Yakuwa okumunyiiza.
18 Yakuwa kyeyava asunguwalira ennyo Abayisirayiri, n’abaggya mu maaso ge.+ Teyalekawo n’omu okuggyako ekika kya Yuda kyokka.
-
-
Yeremiya 7:30, 31Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
30 ‘Kubanga abantu b’omu Yuda bakoze ebintu ebibi mu maaso gange,’ Yakuwa bw’agamba. ‘Batadde ebifaananyi byabwe ebyenyinyaza mu nnyumba eyitibwa erinnya lyange, okugifuula etali nnongoofu.+ 31 Bazimbye ebifo ebigulumivu eby’e Tofesi, ekiri mu Kiwonvu ky’Omwana wa Kinomu,*+ okwokya batabani baabwe ne bawala baabwe mu muliro,+ ekintu kye siragirangako era ekitayingirangako mu mutima gwange.’*+
-