- 
	                        
            
            Ekyabalamuzi 10:6-8Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
- 
                            - 
                                        6 Abayisirayiri ne baddamu okukola ebintu ebibi mu maaso ga Yakuwa,+ era ne batandika okuweereza Babbaali,+ n’ebifaananyi bya Asutoleesi, ne bakatonda b’e Alamu,* ne bakatonda b’e Sidoni, ne bakatonda ba Mowaabu,+ ne bakatonda b’Abaamoni,+ ne bakatonda b’Abafirisuuti.+ Bwe batyo ne bava ku Yakuwa ne batamuweereza. 7 Awo obusungu bwa Yakuwa ne bubuubuukira Isirayiri, n’abatunda mu mukono gw’Abafirisuuti ne mu mukono gw’Abaamoni.+ 8 Ne babonyaabonya era ne banyigiriza nnyo Abayisirayiri mu mwaka ogwo—okumala emyaka 18 baanyigiriza Abayisirayiri bonna abaali emitala wa Yoludaani mu kitundu ekyali eky’Abaamoli mu Gireyaadi. 
 
-