-
1 Peetero 2:4-7Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
4 Bwe mujja gy’ali, ejjinja eddamu abantu lye baagaana+ naye Katonda lye yalonda, era ery’omuwendo ennyo gy’ali,+ 5 mmwe amayinja amalamu, mujja kuzimbibwamu ennyumba ey’eby’omwoyo+ musobole okuba bakabona abatukuvu ab’okuwaayo ssaddaaka ez’eby’omwoyo+ ezisiimibwa Katonda okuyitira mu Yesu Kristo.+ 6 Kubanga Ebyawandiikibwa bigamba nti: “Laba! Nteeka mu Sayuuni ejjinja ery’omusingi ery’oku nsonda, eryalondebwa era ery’omuwendo, era tewali n’omu alikkiririzaamu aliswala.”+
7 N’olwekyo, wa muwendo gye muli kubanga muli bakkiriza; naye eri abo abatakkiriza, “ejjinja abazimbi lye baagaana+ lye lifuuse ejjinja ekkulu ery’oku nsonda,”*+
-