-
1 Samwiri 23:26-28Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
26 Sawulo bwe yatuuka ku luuyi olumu olw’olusozi, Dawudi n’abasajja be baali ku luuyi olulala olw’olusozi olwo. Dawudi yali ayanguwa ng’adduka+ Sawulo, naye Sawulo n’abasajja be baali bajja basembera bakwate Dawudi n’abasajja be.+ 27 Naye waaliwo omubaka eyajja eri Sawulo n’amugamba nti: “Komawo mangu, kubanga Abafirisuuti balumbye ensi yaffe!” 28 Awo Sawulo n’alekera awo okuwondera Dawudi+ n’addayo okulwanyisa Abafirisuuti. Ekifo ekyo kyebaava bakiyita Sera-kammalekosi.*
-
-
2 Samwiri 17:21, 22Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
21 Abasajja bwe baagenda, ne bava mu luzzi ne bagenda ne bategeeza Kabaka Dawudi. Baamugamba nti: “Muyimuke musomoke mangu omugga, kubanga Akisoferi agambye bw’ati ne bw’ati.”+ 22 Amangu ago Dawudi n’abantu bonna abaali naye ne bayimuka ne basomoka Omugga Yoludaani. Obudde we bwakeerera, bonna baali bamaze okusomoka Omugga Yoludaani.
-