LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • 1 Ebyomumirembe Ekisooka 9:33
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 33 Abo be baali abayimbi, abakulu b’ennyumba za bakitaabwe b’Abaleevi. Baabeeranga mu bisenge.* Baggibwako emirimu emirala gyonna, kubanga baalinanga okubeera ku mulimu gwabwe emisana n’ekiro.

  • 1 Ebyomumirembe Ekisooka 23:27
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 27 Okusinziira ku biragiro bya Dawudi ebyasembayo, Abaleevi okuva ku b’emyaka 20 n’okudda waggulu baabalibwa.

  • 1 Ebyomumirembe Ekisooka 23:30
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 30 Baalinga ba kuyimirira buli ku makya+ na buli kawungeezi okwebaza n’okutendereza Yakuwa.+

  • Lukka 2:37
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 37 naye kati yali nnamwandu ng’alina emyaka 84. Teyayosanga kugenda mu yeekaalu, nga yeenyigira mu buweereza obutukuvu emisana n’ekiro, ng’asiiba era nga yeegayirira Katonda.

  • Okubikkulirwa 7:15
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 15 Eyo ye nsonga lwaki bali mu maaso g’entebe ya Katonda ey’obwakabaka, era bamuweereza mu yeekaalu ye emisana n’ekiro; era Oyo atudde ku ntebe ey’obwakabaka+ alibabikkako weema ye.+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share