-
Yoswa 12:7, 8Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
7 Bano be bakabaka b’ensi Yoswa n’Abayisirayiri be baawangula ku luuyi lwa Yoludaani olw’ebugwanjuba, okuva e Bbaali-gaadi+ mu Kiwonvu ky’e Lebanooni+ okutuuka ku Lusozi Kalaki,+ olutuukira ddala e Seyiri;+ oluvannyuma ensi eyo Yoswa yagiwa ebika bya Isirayiri nga buli kimu kifuna omugabo gwakyo;+ 8 mu kitundu eky’ensozi, mu Sefera, mu Alaba, ku buserengeto, mu ddungu, ne mu Negebu.+ Ebyo bye byali ebitundu by’Abakiiti, Abaamoli,+ Abakanani, Abaperizi, Abakiivi, n’Abayebusi,+ era bano be baali bakabaka baabwe:
-