-
2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 20:8, 9Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
8 Baagibeeramu era ne bakuzimbiramu ekifo ekitukuvu eky’erinnya lyo+ nga bagamba nti, 9 ‘Bwe tunaatuukibwangako akabi, nga kava ku kitala, ku kibonerezo, ku ndwadde, oba ku njala, tunaayimiriranga mu maaso g’ennyumba eno ne mu maaso go (kubanga erinnya lyo liri mu nnyumba eno),+ ne tukukoowoola otuyambe mu nnaku yaffe, era owuliranga n’otulokola.’+
-