21 Yakuwa n’atuma malayika n’azikiriza abalwanyi bonna ab’amaanyi,+ abakulembeze, n’abaami abaali mu lusiisira lwa kabaka wa Bwasuli. Awo n’addayo mu nsi ye ng’aswadde. Oluvannyuma yayingira mu nnyumba ya katonda we era abamu ku batabani be ne bamuttira omwo n’ekitala.+