-
2 Bassekabaka 3:24, 25Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
24 Bwe baagenda mu lusiisira lw’Abayisirayiri, Abayisirayiri ne basituka ne batandika okubatta, Abamowaabu ne babadduka.+ Abayisirayiri ne babawondera okutuukira ddala e Mowaabu nga bagenda babatta. 25 Baazikiriza ebibuga, era buli muntu yakasuka ejjinja mu buli kibanja ekirungi, ne kijjula amayinja; baaziba buli nsulo ya mazzi,+ era ne batema buli muti omulungi.+ Bbugwe ow’amayinja ow’ekibuga Kiri-kalesesi+ ye yekka eyasigalawo, era ab’envuumuulo baakyetooloola ne bakizikiriza.
-
-
Yeremiya 48:31Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
31 Eyo ye nsonga lwaki nja kukubira Mowaabu ebiwoobe,
Mowaabu nja kumukaabira
Era nja kukungubagira abantu ab’omu Kiru-keresi.+
-