-
2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 36:15, 16Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
15 Yakuwa Katonda wa bajjajjaabwe yabalabulanga ng’ayitira mu babaka be, yabalabula enfunda n’enfunda, kubanga yali asaasira abantu be n’ekifo kye ky’abeeramu. 16 Naye baajereganga ababaka ba Katonda ow’amazima+ ne banyooma ebigambo bye+ era ne basekerera ne bannabbi be,+ okutuusa obusungu bwa Yakuwa lwe bwabuubuukira abantu be,+ okutuusa lwe kyali nti waali tewakyali ssuubi lyonna lya kubawonya.
-
-
Ezeekyeri 9:9, 10Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
9 Awo n’aŋŋamba nti: “Ensobi y’ennyumba ya Isirayiri ne Yuda nnene nnyo.+ Ensi ejjudde okuyiwa omusaayi+ n’ekibuga kijjudde obulyi bw’enguzi.+ Bagamba nti, ‘Yakuwa alese ensi, era Yakuwa talaba.’+ 10 Naye nze, eriiso lyange terijja kubakwatirwa kisa era sijja kubasaasira.+ Nja kubasasula okusinziira ku makubo gaabwe.”
-