4 Bw’ati Yakuwa bw’agamba,
‘Olwa Yuda okujeema emirundi esatu,+ n’olw’okujeema emirundi ena, sirikikyusa,
Kubanga baaleka amateeka ga Yakuwa,
Era tebaakwata biragiro bye;+
Eby’obulimba bajjajjaabwe bye baagoberera nabo bibawabizza.+
5 Kyendiva nsindika omuliro mu Yuda,
Era gulyokya eminaala gya Yerusaalemi.’+