LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • 2 Bassekabaka 18:13
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 13 Mu mwaka ogw’ekkumi n’ena ogw’obufuzi bwa Kabaka Keezeekiya, Sennakeribu kabaka wa Bwasuli+ yalumba ebibuga bya Yuda byonna ebiriko bbugwe n’abiwamba.+

  • 2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 32:1
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 32 Oluvannyuma lw’ebyo, era nga Keezeekiya amaze okulaga obwesigwa ng’obwo,+ Sennakeribu kabaka wa Bwasuli yajja n’alumba Yuda, n’azingiza ebibuga ebyaliko bbugwe ng’ayagala okumenya bbugwe waabyo abiwambe.+

  • Isaaya 8:7, 8
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    •  7 Yakuwa alibasindikira

      Amazzi g’Omugga* amangi era ag’amaanyi,

      Kabaka wa Bwasuli+ n’ekitiibwa kye kyonna.

      Kabaka oyo alijjuza emigga gye gyonna

      Era gyonna aligyanjaaza

       8 N’ayita mu Yuda.

      Alyanjaala n’ayitamu n’atuukira ddala mu bulago;+

      Ebiwaawaatiro bye ebyanjuluziddwa birijjula mu nsi yo nga bwe yenkana obugazi,

      Ggwe Emmanweri!”*+

  • Isaaya 10:28-32
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 28 Atuuse mu Ayasi;+

      Ayise mu Miguloni;

      Omugugu gwe aguterese e Mikumasi.+

      29 Bayise ku musomoko;

      Basuze Geba;+

      Laama kikankana, abantu b’omu Gibeya+ ekya Sawulo badduse.+

      30 Yogerera waggulu era leekaana, ggwe muwala wa Galimu!

      Ssaayo omwoyo ggwe Layisa!

      Ssaayo omwoyo ggwe Anasosi!+

      31 Madumena adduse.

      Abantu b’omu Gebimu banoonyezza obuddukiro.

      32 Ku lunaku olwo aliyimirira e Nobu.+

      Afunyiriza olusozi lwa muwala wa Sayuuni ebikonde,

      Abifunyirizza akasozi ka Yerusaalemi.

  • Isaaya 33:8
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    •  8 Enguudo teziriimu bantu;

      Mu makubo temuli muntu n’omu.

      Amenye* endagaano;

      Yeesambye ebibuga;

      Tewali muntu yenna gw’atwala ng’ekikulu.+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share