20 “‘Ku lunaku olwo ndiyita omuweereza wange Eriyakimu+ mutabani wa Kirukiya, 21 ne mmwambaza ekkanzu yo era ne mmusiba omusipi gwo ne ngunyweza;+ obuyinza bwo ndibuwaayo mu mukono gwe. Alifuuka taata eri abantu b’omu Yerusaalemi n’eri ennyumba ya Yuda.