-
2 Bassekabaka 18:36, 37Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
36 Naye abantu baasirika ne batamuddamu kigambo kyonna, kubanga kabaka yali alagidde nti, “Temumuddamu.”+ 37 Naye Eriyakimu mutabani wa Kirukiya, eyalabiriranga ennyumba ya* kabaka, ne Sebuna omuwandiisi, ne Yowa mutabani wa Asafu, eyawandiikanga ebyabangawo, ne bagenda eri Keezeekiya nga bayuzizza ebyambalo byabwe, ne bamubuulira ebyo Labusake bye yali ayogedde.
-
-
Engero 9:7Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
7 Oyo awabula omunyoomi yeereetera okuswala,+
Na buli anenya omuntu omubi ajja kulumizibwa.
-