-
Okuva 34:6, 7Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
6 Yakuwa n’ayita mu maaso ge ng’alangirira nti: “Yakuwa, Yakuwa, Katonda omusaasizi+ era ow’ekisa,+ alwawo okusunguwala+ era alina okwagala kungi okutajjulukuka+ n’amazima amangi,*+ 7 alaga okwagala okutajjulukuka eri enkumi n’enkumi,+ asonyiwa ensobi, okwonoona, n’ebibi,+ naye atalirema kubonereza oyo aliko omusango,+ abonereza abaana n’abazzukulu n’abaana b’abazzukulu olw’ensobi za bakitaabwe.”+
-