4 Bbugwe w’ekibuga yakubibwamu ekituli;+ Abakaludaaya bwe baali nga bazingizza ekibuga, abasirikale bonna baakiddukamu ekiro nga bayita mu mulyango ogwali wakati w’ebisenge ebibiri okumpi n’ennimiro ya kabaka; ate ye kabaka yayitira mu kkubo erigenda mu Alaba.+