1 Bassekabaka 11:7 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 7 Awo Sulemaani n’azimba ekifo ekigulumivu+ ku lusozi olwali mu maaso ga Yerusaalemi, eky’okusinzizaako Kemosi katonda eyeenyinyaza owa Mowaabu, n’ekirala eky’okusinzizaako Moleki+ katonda eyeenyinyaza ow’Abaamoni.+ 2 Bassekabaka 21:1 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 21 Manase+ yatandika okufuga ng’alina emyaka 12, era yafugira emyaka 55 mu Yerusaalemi.+ Nnyina yali ayitibwa Kefuziba. 2 Bassekabaka 21:4 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 4 Ate era yazimba ebyoto mu nnyumba ya Yakuwa,+ Yakuwa gye yayogerako nti: “Mu Yerusaalemi mwe nditeeka erinnya lyange.”+
7 Awo Sulemaani n’azimba ekifo ekigulumivu+ ku lusozi olwali mu maaso ga Yerusaalemi, eky’okusinzizaako Kemosi katonda eyeenyinyaza owa Mowaabu, n’ekirala eky’okusinzizaako Moleki+ katonda eyeenyinyaza ow’Abaamoni.+
21 Manase+ yatandika okufuga ng’alina emyaka 12, era yafugira emyaka 55 mu Yerusaalemi.+ Nnyina yali ayitibwa Kefuziba.
4 Ate era yazimba ebyoto mu nnyumba ya Yakuwa,+ Yakuwa gye yayogerako nti: “Mu Yerusaalemi mwe nditeeka erinnya lyange.”+