Yeremiya 25:3 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 3 “Okuva mu mwaka ogw’ekkumi n’esatu ogw’obufuzi bwa Kabaka Yosiya+ owa Yuda, mutabani wa Amoni, okutuusa leero, gye myaka 23, Yakuwa abadde ayogera nange, era nange mbabuulidde enfunda n’enfunda,* naye ne mutawuliriza.+ Yeremiya 35:15 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 15 Nnabatumira abaweereza bange bannabbi enfunda n’enfunda*+ nga ŋŋamba nti, ‘Mukyuke muleke amakubo gammwe amabi,+ mukole ekituufu. Temugoberera bakatonda balala era temubaweereza. Olwo mujja kweyongera okubeera mu nsi gye nnabawa mmwe ne bajjajjammwe.’+ Naye temwampuliriza.
3 “Okuva mu mwaka ogw’ekkumi n’esatu ogw’obufuzi bwa Kabaka Yosiya+ owa Yuda, mutabani wa Amoni, okutuusa leero, gye myaka 23, Yakuwa abadde ayogera nange, era nange mbabuulidde enfunda n’enfunda,* naye ne mutawuliriza.+
15 Nnabatumira abaweereza bange bannabbi enfunda n’enfunda*+ nga ŋŋamba nti, ‘Mukyuke muleke amakubo gammwe amabi,+ mukole ekituufu. Temugoberera bakatonda balala era temubaweereza. Olwo mujja kweyongera okubeera mu nsi gye nnabawa mmwe ne bajjajjammwe.’+ Naye temwampuliriza.