23 Bw’ati Yakuwa ow’eggye, Katonda wa Isirayiri, bw’agamba: “Baliddamu okwogera ebigambo bino mu nsi ya Yuda ne mu bibuga byayo bwe ndikomyawo abasibe baabwe: ‘Yakuwa k’akuwe omukisa, ggwe ekifo eky’obutuukirivu eky’okubeeramu,+ ggwe olusozi olutukuvu.’+