-
Eseza 4:15, 16Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
15 Eseza n’addamu Moluddekaayi nti: 16 “Genda okuŋŋaanye Abayudaaya bonna abali mu Susani* musiibe+ ku lwange, era temulya wadde okunywa okumala ennaku ssatu,+ emisana n’ekiro. Nange nja kusiiba awamu n’abaweereza bange abakazi, olwo ndyoke ŋŋende eri kabaka, wadde nga tekikkirizibwa mu mateeka. Bwe nnaaba wa kufa kale nnaafa.”
-