-
2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 34:20, 21Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
20 Awo kabaka n’alagira Kirukiya, ne Akikamu+ mutabani wa Safani, ne Abudoni mutabani wa Mikka, ne Safani omuwandiisi, ne Asaya omuweereza wa kabaka nti: 21 “Mugende mwebuuze ku Yakuwa ku lwange ne ku lw’abo bonna abasigaddewo mu Isirayiri ne mu Yuda ebikwata ku bigambo ebiri mu kitabo ekizuuliddwa, kubanga obusungu bwa Yakuwa obutwolekedde bungi olw’okuba bajjajjaffe tebaakwata bigambo bya Yakuwa okukola byonna ebiwandiikiddwa mu kitabo kino.”+
-
-
Yeremiya 39:13, 14Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
13 Awo Nebuzaladaani eyali akulira abakuumi, Labusalisi* Nebusazubaani, Labumagi* Nerugalu-salezeeri, n’abakungu bonna aba kabaka wa Babulooni ne batuma abantu 14 ne baggya Yeremiya mu Luggya lw’Abakuumi+ ne bamuwaayo eri Gedaliya+ mutabani wa Akikamu+ mutabani wa Safani+ bamutwale mu nnyumba ya Gedaliya. Awo n’abeera mu bantu be.
-