13 Awo Yokanani mutabani wa Kaleya n’abaduumizi b’eggye abaali mu nsi ne bajja eri Gedaliya e Mizupa. 14 Ne bamugamba nti: “Tokimanyi nti Baalisi kabaka w’Abaamoni+ atumye Isimayiri mutabani wa Nesaniya okukutta?”+ Naye Gedaliya mutabani wa Akikamu teyakkiriza kye baamugamba.