17 Awo ne bagenda ne babeera mu kisulo kya Kimamu okumpi n’e Besirekemu,+ nga bateekateeka okugenda e Misiri+ 18 olw’okutya Abakaludaaya, olw’okuba Isimayiri mutabani wa Nesaniya yali asse n’ekitala Gedaliya mutabani wa Akikamu, kabaka wa Babulooni gwe yali alonze okufuga Yuda.+