-
Yeremiya 44:12-14Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
12 Nja kutwala aba Yuda abaasigalawo abaali bamaliridde okugenda mu nsi ya Misiri okubeera eyo, era bonna bajja kuzikirira mu nsi ya Misiri.+ Bajja kuttibwa n’ekitala era basaanewo olw’enjala; omugagga n’omwavu, omukulu n’omuto, bajja kufa ekitala n’enjala. Bajja kufuuka ekikolimo, ekintu eky’entiisa, ekikolimirwa, era ekivume.+ 13 Nja kubonereza abo ababeera mu nsi ya Misiri nga bwe nnabonereza Yerusaalemi, nga nkozesa ekitala, enjala, n’endwadde.+ 14 Ate era aba Yuda abaasigalawo abaagenda okubeera mu nsi ya Misiri tebajja kusimattuka wadde okuwonawo baddeyo mu nsi ya Yuda. Bajja kwagala okuddayo babeere eyo, naye tebajja kuddayo, okuggyako abatono abanaawonawo.’”
-
-
Yeremiya 44:27, 28Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
27 Kaakano ndi bulindaala okubatuusaako akabi so si ekintu ekirungi;+ abantu bonna aba Yuda abali mu nsi ya Misiri bajja kuttibwa n’ekitala n’enjala, okutuusa lwe banaasaanawo.+ 28 Batono nnyo abanaawona ekitala era abanaava mu nsi ya Misiri ne baddayo mu nsi ya Yuda.+ Aba Yuda abaasigalawo ne bagenda mu nsi ya Misiri okubeera eyo balimanya obanga ebigambo ebyange bye bituukiridde, oba ebyabwe!”’”
-