-
2 Bassekabaka 25:8-10Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
8 Mu mwaka ogw’ekkumi n’omwenda ogw’obufuzi bwa Kabaka Nebukadduneeza owa Babulooni, mu mwezi ogw’okutaano, ku lunaku olw’omusanvu, Nebuzaladaani+ omuweereza wa kabaka wa Babulooni eyali akulira abakuumi, yagenda e Yerusaalemi.+ 9 Yayokya ennyumba ya Yakuwa,+ ennyumba ya* kabaka,+ n’amayumba gonna ag’omu Yerusaalemi;+ yayokya n’amayumba ag’abantu bonna ab’ebitiibwa.+ 10 Eggye ly’Abakaludaaya lyonna eryali n’omukulu w’abakuumi lyamenya bbugwe wa Yerusaalemi.+
-
-
2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 34:24, 25Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
24 “Bw’ati Yakuwa bw’agamba, ‘Nja kuleeta akabi ku kifo kino ne ku bantu abakibeeramu;+ nja kuleeta ebikolimo byonna ebiwandiikiddwa mu kitabo+ kye baasomedde mu maaso ga kabaka wa Yuda. 25 Olw’okuba banvuddeko,+ ne banyookereza omukka gwa ssaddaaka eri bakatonda abalala okunnyiiza+ n’ebyo byonna bye bakola n’emikono gyabwe, obusungu bwange bujja kufukibwa ku kifo kino era tebujja kukomezebwa.’”+
-
-
2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 36:16, 17Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
16 Naye baajereganga ababaka ba Katonda ow’amazima+ ne banyooma ebigambo bye+ era ne basekerera ne bannabbi be,+ okutuusa obusungu bwa Yakuwa lwe bwabuubuukira abantu be,+ okutuusa lwe kyali nti waali tewakyali ssuubi lyonna lya kubawonya.
17 Kyeyava abaleetera kabaka w’Abakaludaaya+ eyatta n’ekitala abavubuka baabwe+ mu kifo kyabwe ekitukuvu.+ Teyasaasira mulenzi wadde omuwala, omukadde wadde oyo aliko obulemu.+ Katonda yawaayo buli kimu mu mukono gwe.+
-