-
Isaaya 5:9Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
9 Yakuwa ow’eggye alayidde nga mpulira
Nti amayumba mangi, wadde nga manene era nga malungi,
Galifuuka ekintu eky’entiisa,
Nga tewali agabeeramu.+
-
-
Isaaya 6:11Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
11 Awo ne ŋŋamba nti: “Kiriba bwe kityo kumala bbanga ki, Ai Yakuwa?” N’anziramu nti:
“Okutuusa ng’ebibuga bizikiriziddwa era nga tewali abibeeramu
Nga n’amayumba tegaliimu bantu
Era nga n’ensi eyonooneddwa, ng’efuuse matongo;+
-
Yeremiya 2:15Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
15 Empologoma envubuka zimuwulugumira;+
Ziyimusizza amaloboozi gaazo.
Ensi ye zigifudde ekintu eky’entiisa.
Ebibuga bye byokeddwa omuliro, ne kiba nti tebikyalimu bantu.
-
-
-