-
Yeremiya 25:9Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
9 ŋŋenda kutumya ab’amawanga gonna ag’ebukiikakkono,”+ Yakuwa bw’agamba, “n’omuweereza wange+ Kabaka Nebukadduneeza* owa Babulooni, era nja kubaleeta balwanyise ensi eno,+ n’abagibeeramu bonna, n’amawanga gonna agabeetoolodde.+ Nja kubazikiriza era mbafuule ekintu eky’entiisa era eky’okufuuyira oluwa, era mbafuule amatongo ag’olubeerera.
-
-
Yeremiya 27:6Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
6 Kaakano ensi zino zonna nziwadde omuweereza wange Kabaka Nebukadduneeza+ owa Babulooni; n’ensolo ez’omu nsiko nzimuwadde zimuweereze.
-
-
Ezeekyeri 29:19, 20Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
19 “Kale bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba, ‘Nebukadduneeza* kabaka wa Babulooni+ ŋŋenda kumuwa ensi ya Misiri, era ajja kutwala eby’obugagga byayo era agiggyemu omunyago mungi; ebyo bye bijja okuba empeera y’eggye lye.’
20 “‘Nja kumuwa ensi ya Misiri ng’empeera kubanga yalwanyisa Ttuulo ku lwange,’+ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna.
-