13 Ennyumba z’omu Yerusaalemi n’ennyumba za bakabaka ba Yuda zijja kufuuka ezitali nnongoofu ng’ekifo kino, Tofesi,+ kubanga waggulu ku nnyumba ezo baaweerangayo ssaddaaka eri eggye lyonna ery’oku ggulu,+ era n’ebiweebwayo ebinywebwa eri bakatonda abalala.’”+