-
Yeremiya 14:13Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
13 Awo ne ŋŋamba nti: “Ai Yakuwa Mukama Afuga Byonna! Laba, bannabbi babagamba nti, ‘Temujja kuba na lutalo, wadde enjala, naye Katonda ajja kubawa emirembe egya nnamaddala mu kifo kino.’”+
-
-
Yeremiya 23:16, 17Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
16 Bw’ati Yakuwa ow’eggye bw’agamba:
“Temuwuliriza bigambo bannabbi bye babagamba.+
Babalimba.*
17 Enfunda n’enfunda bagamba abo abatanzisaamu kitiibwa nti,
‘Yakuwa agambye nti: “Mujja kuba mu mirembe.”’+
Era abo bonna abagugubira ku ky’okugoberera emitima gyabwe emikakanyavu babagamba nti,
‘Tewali kabi kajja kubatuukako.’+
-