Olubereberye 37:25 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 25 Awo ne batuula wansi okulya. Bwe baayimusa amaaso, ne balaba ekibinja ky’Abayisimayiri+ abaali bava e Gireyaadi nga bagenda e Misiri, era ng’eŋŋamira zaabwe zeetisse amasanda agawunya obulungi,* ne basamu, n’ebikuta by’emiti egy’amasanda.+ Yeremiya 8:22 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 22 Teri basamu* mu Gireyaadi?+ Oba teriiyo awonya?*+ Lwaki omuwala w’abantu bange tawonyezeddwa?+
25 Awo ne batuula wansi okulya. Bwe baayimusa amaaso, ne balaba ekibinja ky’Abayisimayiri+ abaali bava e Gireyaadi nga bagenda e Misiri, era ng’eŋŋamira zaabwe zeetisse amasanda agawunya obulungi,* ne basamu, n’ebikuta by’emiti egy’amasanda.+