28 Awo kabaka ne yeebuuza ku abo abaamuwanga amagezi n’akola ennyana bbiri eza zzaabu,+ n’agamba abantu nti: “Mukaluubirirwa nnyo okwambuka e Yerusaalemi. Ggwe Isirayiri, ono ye Katonda wo eyakuggya mu nsi ya Misiri.”+ 29 Ennyana emu yagiteeka mu Beseri,+ endala n’agiteeka mu Ddaani.+