-
Isaaya 25:10, 11Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
10 Kubanga omukono gwa Yakuwa gulibeera ku lusozi luno,+
Era Mowaabu alirinnyirirwa mu kifo kye+
Ng’ebisubi bwe birinnyirirwa mu ntuumu y’ebigimusa.
11 Aligolola omukono gwe n’akuba Mowaabu
Ng’omuntu awuga bw’akuba amazzi n’emikono gye,
Era alikkakkanya amalala ge+
Ng’akozesa emikono gye mu ngeri ey’obukugu.
-
-
Zeffaniya 2:9, 10Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
9 N’olwekyo, nga bwe ndi omulamu,” Yakuwa ow’eggye, Katonda wa Isirayiri, bw’agamba,
“Mowaabu erifuuka nga Sodomu,+
N’Abaamoni balifuuka nga Ggomola,+
Ekifo ekyameramu omwennyango, ekinnya eky’omunnyo, era amatongo ag’olubeerera.+
Abantu bange abalisigalawo balibinyaga,
Abalisigalawo ku ggwanga lyange balibitwala.
10 Ekyo kye balisasulwa olw’amalala gaabwe,+
Kubanga baavuma era ne beeguluumiriza ku bantu ba Yakuwa ow’eggye.
-