-
Yeremiya 10:21Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
Eyo ye nsonga lwaki tebeeyisizza mu ngeri ey’amagezi,
Era ye nsonga lwaki endiga zaabwe zonna zisaasaanye.”+
-
-
Yeremiya 23:2Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
2 Kale bw’ati Yakuwa Katonda wa Isirayiri bw’ayogera ku basumba abalunda abantu bange: “Musaasaanyizza endiga zange; mwazisaasaanya era temuzirabiridde.”+
“Kale ŋŋenda kubabonereza olw’ebikolwa byammwe ebibi,” Yakuwa bw’agamba.
-
-
Ezeekyeri 34:6Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
6 Endiga zange zaawabiranga ku nsozi zonna ne ku busozi bwonna obuwanvu; endiga zange zaasaasaanira mu nsi yonna, ne wataba azinoonya wadde agezaako okumanya gye ziri.
-