LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Isaaya 48:20
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 20 Mufulume mu Babulooni!+

      Mudduke Abakaludaaya!

      Mukyogereko n’essanyu! Mukirangirire!+

      Mukimanyise ensi yonna.+

      Mugambe nti: “Yakuwa anunudde Yakobo omuweereza we.+

  • Yeremiya 51:6
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    •  6 Mudduke muve mu Babulooni,

      Muwonye obulamu bwammwe.+

      Temuzikirira olw’ensobi ze.

      Kubanga ekiseera kya Yakuwa okuwoolera eggwanga kituuse.

      Amusasula olw’ebyo by’akoze.+

  • Yeremiya 51:45
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 45 Mumufulumemu abantu bange!+

      Mudduke mwewonye+ obusungu bwa Yakuwa obubuubuuka!+

  • Zekkaliya 2:7
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 7 “Jjangu ggwe Sayuuni! Mudduke mmwe ababeera ne muwala wa Babulooni.+

  • 2 Abakkolinso 6:17
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 17 “‘Kale muve wakati mu bo, era mubeeyawuleko,’ Yakuwa* bw’agamba, ‘era mulekere awo okukwata ku kitali kirongoofu’”;+ “‘nange nnaabasembeza.’”+

  • Okubikkulirwa 18:2
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 2 N’ayogerera waggulu n’eddoboozi eddene, n’agamba nti: “Kigudde! Babulooni Ekinene kigudde,+ era kifuuse ekifo ekibeeramu badayimooni, era omwekweka buli mwoyo mubi,* na buli kinyonyi ekitali kirongoofu era ekitaagalibwa!+

  • Okubikkulirwa 18:4
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 4 Awo ne mpulira eddoboozi eddala okuva mu ggulu nga ligamba nti: “Mukifulumemu abantu bange,+ bwe muba nga temwagala kussa kimu nakyo mu bibi byakyo, era bwe muba nga temwagala kugabana ku bibonyoobonyo byakyo.+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share