LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Isaaya 11:16
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 16 Walibaawo oluguudo olunene+ oluva e Bwasuli abantu be abalisigalawo mwe baliyita,+

      Nga bwe waaliwo olwo Isirayiri mwe yayita ku lunaku lwe yava mu nsi ya Misiri.

  • Isaaya 65:10
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 10 Saloni+ kijja kubeera ddundiro lya ndiga,

      Era Ekiwonvu Akoli+ kijja kubeera kifo

      Ente z’abantu bange abannoonya mwe ziwummulira.

  • Yeremiya 23:3
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 3 “Nja kukuŋŋaanya endiga zange ezisigaddewo okuva mu nsi zonna gye nnazisaasaanyiza,+ era nja kuzikomyawo mu ddundiro lyazo,+ era zijja kuzaala, zaale.+

  • Yeremiya 33:7
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 7 Nja kukomyawo ab’omu Yuda ne Isirayiri abaawambibwa,+ era nja kubazimba nga bwe nnakola mu kusooka.+

  • Ezeekyeri 34:14
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 14 Nja kuziriisa omuddo omulungi era nja kuzirundira ku nsozi z’omu Isirayiri empanvu.+ Zijja kugalamira eyo mu malundiro amalungi,+ era zijja kulya omuddo omulungi ku nsozi z’omu Isirayiri.”

  • Mikka 2:12
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 12 Ndibakuŋŋaanya mmwe mmwenna aba Yakobo;

      Ndikuŋŋaanya aba Isirayiri abaasigalawo.+

      Ndibateeka wamu ng’endiga mu kisibo,

      Ng’ekisibo ekiri mu ddundiro;+

      Eyo eribaayo oluyoogaano.’+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share