-
Isaaya 34:6, 7Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
6 Yakuwa alina ekitala; kiribuna omusaayi.
Kirijjula amasavu,+
Kirijjula omusaayi gw’endiga ento ennume n’ogw’embuzi,
Kirijjula amasavu g’ensigo z’endiga ennume.
Kubanga Yakuwa ateeseteese ssaddaaka mu Bozula,
Walibaawo okutta kungi mu nsi ya Edomu.+
7 Sseddume ez’omu nsiko ziriserengeta wamu nazo,
Ente ento ennume wamu n’ente ennume ez’amaanyi.
Ensi yaazo erinnyikira omusaayi,
N’enfuufu yaazo erinnyikira amasavu.”
-
-
Ezeekyeri 39:18Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
18 Mujja kulya ennyama y’ab’amaanyi, era munywe omusaayi gw’abaami b’ensi—endiga ennume, endiga ento, embuzi, n’ente ennume—ensolo zonna eza ssava ez’omu Basani.
-